Amawulire

Buganda Ewaddeyo Enkata ya Bukadde 110 Okulwanyisa Nalubiri

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2017

No comments

 

Bya Shamim Nateebwa

Abakulembeze ku mitendera gyonna, basabiddwa okukubiriza abantu baabwe okufaayo ku nsonga zebyobulamu.

Buno bubadde bubaka bwa Katikkiro, mu bigambo bye e Bulange Mengo bwabadde awaayo enkata eyobukadde110 eri eddwaliro lya Central public health e Butabiika, ezimu ku nsimbi ezasolozebwa mu misinde gyamazalibwa ga Kabaka okulwanyisa nnawokeera wa Nalubiri oba Sickle Cells.

Owembuga Mayiga ategezezza nti nga  Buganda okusomozebwa kwa maanyi okutbula ebyobulamu okulwanyisa aalwadde agaluma abantu ba Ssabasajja , ate neyenyamira olwebirwadde ebimu nga bino abantu okuwanuuza nti ddogo, kaygeddeko ngobutamanya.

Okusonziira ku minister webyobulamu, Sarah opendi ebibalo ebikwata ku sickcell mu Uganda biraga nti ali ku 13.3%,ngokusinga wakati 50 ne 70% baana abatto abamalriiza nga bafudde nga tebanaweza myaka 5.

Agambye nti ensimbi zino ezibwererddwa obukadde, 110 bagenda kuzikozesa okusomesa bantu okwetoola egwanga ku kirwadde kino.