Amawulire

Buganda ettongozza entekateeka z’omwoleso gwebyobulmbuzi

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

 

Bya Shamim Nateebwa

File Photo: Mayega nga yogera

Olunaku olwaleero obwakabaka bwa Buganda butongozza kawefube aganda okugobererwa  mu kutegeka omwoleso gwa Buganda  ogw’omwaka guno 2018.

Okusinziira ku ntekateeka, omwoleso gugenda kutandika nga 24th June gumale sabiiti namba, nga gwakubaamu ebyobulamubuzi, obusuubuzi nebikwata ku butonde bwensi.

Bwabadde eyogerera mu kutongoza omwoleso guno, Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayega agambye nti Buganda erina buli kyakwolesa ekyetagibwa ensi yonna, wabulanga ekibadde kibulamu kwekubira ensi.

Kati ono agamba nti kaweefube gwebalimu wakulaba nga buli kyabulambuzi bakilaga eri ensi, nga y’ensonga lwaki ebitongole eby’enjawulo nabantu ssekinoomu leero begasse ku ntekateeka yomwoleso guno.