Amawulire

Buganda ekaanyiza ne gavumenti ku bya mapu.

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Olunaku olwaleero ekitongole ku by’emiwendo ekya Uganda national bureau of statistics nga kikulembedwamu akikulira Dr.Paul Ben Mungereeza  bawayizaamu ne katikiro wa Buganda Charles peter mayiga nga baagala kumelengula nsonga ez’okujja Buganda ku map ya uganda.

Dr Mungereeza agambye nti Buganda yali yakyusibwa bukyusibwa linya ku map ya uganda  netuumibwa  central 1  ne central 2, wabula nga ensobi eyakolebwa bwebutasooka kwebuuza ku bakulu mu Buganda.

Ono agambye nti kyebagenda  okukola kwekutondawo amambuka ga Buganda n’amaserengeta, wabula yo kampala tegenda kukyusibwa linya.

Ono asabye abantu ba Buganda okusigala nga bakakammu nga bwebakola ku nsonga eno mu bwangu.

Wabula ye katikkiro abasabye okukwata ensonga zino n’obwegendereza okutangira ensonga okusajjuka.