Amawulire
Buganda efunye ebyapa ebirala
Pulezidenti Museveni mu butongole ekwasizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ebyapa 82 ebiddiziddwa Obwakabaka bwa Buganda.
Omukolo guno gubadde mu maka g’obwa pulezidenti Entebbe era nga gwetabiddwako omulangira David Wasajja, omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi n’abalala.
Gavumenti ekiikiriddwa omuwolereza wa gavumenti Fred Ruhindi.
Ono y’omu ku kawefube agendereddwamu okussa mu nkola endagaano eyateekebwaako emikono mu mwaka gwa 2013, gavumenti mweyakkiririza okuddiza Buganda ebimu ku bintu byayo ebyawambibwa Milton Obote mu mwaka gwa 1966.
Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi agambye nti abakungu okuva e Mengo batandise okwetegereza ebyapa bino, okulaba wa ettaka gyeriri wamu n’okulaba oba kuliko abasenze