Amawulire

Bubuulo-owa DP akyalajana

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Mao suspends officials

Okusunsula kwa  Munakibiina kya Dp okwesimbawo ku kujuza ekifo ky’omubaka w’ebubulo ey’obugwanjuba kuli mu lusuubo.

Paul Butiiti akyali mabega wa mitayimbwa oluvanyuma lw’okukwatibwa ku lwomukaaga lwa wiiki eyise bweyetaba mu lukungaana lw’aboludda oluvuganya gavumenti poliisi lweyalinyamu eggere.

Kati ssenkagale wa DP  Norbert Mao agamba bakyafuba kulaba nga omuntu waabwe asunsulwa nga taliwwo naawa eky’okulabirako ekya  Dr Kiiza Besigye bweyasunsulwa okuvuganya ku ky’obukulembeze bw’eggwanga nga taliiwo.

Okusunsula kuggwa lunaku lwaleero nga Butiiti yasubirwa okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda.

Abantu 2 okuli owa FDC nowa NRM bebasunsuddwa oluinaku olw’egulo kukujuza ekifo kino oluvanyuma lwa Tony Kipoi okufuumulwa mu palamenti lwakwebulankanya mu ntuula ezenjawulo.