Amawulire
Bomu e Nigeria 60 bafu
Amawulire agava mu ggwanga lya Nigeria galaga ng’abantu 60 bwe batiddwa banalukalala ba Boko Haram.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa ku kyaalo ekimanyiddwa nga Kukuwa musaza lye Yobe.
Amawulire galaga bwewaliwo abantu abalala abagudde mu Nyanja nga bagezaako okwetegula ekibambulira.
Aberabiddeko nagabwe bategezeza nga banalukalala bano bwe bakozeseza pikipiki okukola obulumbaganyi buno.