Amawulire

Bobiwine ayagala gavt eyimbule abantu bonna abazze bawambibwa

Bobiwine ayagala gavt eyimbule abantu bonna abazze bawambibwa

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ekibiina kya National Unity Party (NUP) akawungeezi ka leero kilaze ekibinja ky’abavubuka n’abakadde nga bakutte ebipande nga baagala abooluganda lwabwe abazze babula bayimbulwe.

Bw’abadde ayogera eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina kya NUP e Kamyokya, Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, pulezidenti w’ekibiina kino alumiriza nti abantu abasoba mu 100 bebaawambibbwa.

Kyagulanyi agamba nti okuva olwo gavumenti yakakasa nti abamu ku bantu bano baakwatibwa wabula asaba bayimbulwe.

Kati alangiridde okwekalakaasa okw’emirembe ng’ayagala abantu bonna ababuze mu ggwanga bayimbulwe era n’alaajanira ensi za bazungu okuyingira mu nsonga zino.