Amawulire

Bobiwine akubiriza abavubuka okweyisa obulungi ku lwénkyukyuka

Bobiwine akubiriza abavubuka okweyisa obulungi ku lwénkyukyuka

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu akuutidde abavubuka mu kibiina kye okwewala obusosoze obwesigamiziddwa ku mawanga n’eddiini olw’okulakulanya ekibiina n’okukiyamba okutuuka ku biruubirirwa.

Kyagulanyi agamba nti enjawukana mu ddini n’amawanga zizza ekibiina mabega na kukifeebya.

Okwogera bino yasinzidde ku kitebe ky’ekibiina mu lukungaana lw’abavubuka bannakibiina nategeea nti yenna ayagaliza eggwanga enkyukakyuka eza nnamaddala talina kulowooza ku busosoze.

Kyagulanyi era akalaatidde abavubuka ku mpisa n’abajjukiza nti abamu ku bbo naddala abakunga oluusi boolesa empisa embi ekivumaganyisa ekibiina.