Amawulire

Bobiwine agenze Kasese mu kawefube wókukunga Bannakibiina

Bobiwine agenze Kasese mu kawefube wókukunga Bannakibiina

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omukulembeze Wékibiina Kyébyóbufuzi ekya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu w’owulira bino mutaka mu kibuga ky’eKasese gyagenze okugulawo yafeesi zekibiina  n’okudamu okumakuma bannakibiina enaku zinno ababadde betemyemu.

Abamu ku bannakibiina Kya NUP,okuli abakolera mu butale kunguudo, abagoba baboda nabalala betwogedeko nabo balaze esannyu era nga bagamba nti baludde nga balindiridde omwagalwa wabwe era nga bamulinamu essuubi.

Abalala bategezeza nga bwebakooye embeera ey’okunyigirizibwa nga Kati kyebeetaaga ye Pulezidenti omugya anasobola okutereeza ebyenfuna bya Uganda.

Okutalaga kwa Kyagulanyi mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo yakutandika ku Monday ya Wiiki eno nga 28th era nga kwakugenda mu maaso nomwezi gwa September gwona.

Ku lunaku lwa Monday yabadde Mbarara, olunaku lwajjo yabadde Fortportal