Amawulire

Bobi Wine Waakutwalibwa e Bungereza ajanjabibwe.

Bobi Wine Waakutwalibwa e Bungereza ajanjabibwe.

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Tutegeezeddwa nga entekateeka bwezikolebwa okutwala omubaka wa kyandondo east Robert Kyagulanyi mu gwanga lya Bungereza ajanjabibwe, nga kino kidiridde kooti okumuyimbula nebanne abalala 32.

Ono yatuusiddwa mu kibuga Kampala ku saawa taano ez’ekiro, era wetwogerera nga alli mu dwaliro elya Lubaga afuna bujanjabi;

Kati twogedeko ne Richard Kalema nga ono ye mwogezi wa Kyagulanyi nagamba nti bakyalinze baluwa zabasawo abaamwekebezze, nga kuzino kwebagenda okusinziira okumutwala mu London Royal Hospital afune obujanjabi

Wabula ono agambye nti kino kiyinza okutwala enaku nga satu.