Amawulire
Bobi wine azeemu okukwatibwa
Bya Rita Kemigisa,
Poliisi ezzemu ne kwata senkagale wekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi bwabadde atwala ekiwandiiko eri omuddumizi wámaggye Gen David Muhoozi ne minisita owe byokwerinda nga yemulugunya ku bawagizi abawambibwa
Mu lukungana lwa bannamawulire lwatuziza enkya ya leero Kyagulanyi asoose kulangirira nga bwagenda okutwala ekiwandiiko kino eri Omuddumizi wa maggye nga ayagala abantube bayimbulwe yonna gye bali.
Yalabudde nti singa ensonga ye tekolwako bakusigala nga bekalakaasa mu mirembe
Nolunaku lweggulo Kyagulanyi yagombedwamu obwala okuliraana city square bweyakulembedemu abawagizibe ne bekalakaasa kunsonga yemu eno