Amawulire

Bobi wine ayagala bwenkanya kubafiira mu bwegugungo

Bobi wine ayagala bwenkanya kubafiira mu bwegugungo

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssenkagale wékibiina kyébyóbufuzi ekya National Unity platform (NUP) Robert Kyagulanyi akubiriza bannakibiina okusigala nga bamaanyi nóbutakoowa kulwanirira nkyukyuka yadde nga bayita mu kutiisibwatiisibwa.

Bino abyogedde mu kusabira emyoyo gyabantu abafiira ku kwekalakaasa okwennaku 2 okwaliwo mu mwezi gwa musenene omwaka oguwedde ngennaku zomwezi 18th ne 19th, bwebaali bawakanya ekya bakuuma ddembe okugalira Bobiwine bweyali agenze mu disitulikiti eye Luuka okuwenja akalulu kobwa pulezidenti.

Kyagulanyi agambye nti gavumenti ekola buli kisoboka okulaba nti abulwako abamuwagira nabamwegattako mu lutalo lwenkyukyuka yadde nga kino tekisoboka kuba nakati bangi beyongera ku mwegattako.

Mungeri yemu ono avumiridde gavt olwokulemererwa okuwa obwenkanya eri abantu abafiira mu bwegugungo obwennaku 2

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *