Amawulire

Bobi Wine ali Makindye ne Kitatta

Bobi Wine ali Makindye ne Kitatta

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nti omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu yatusiddwa bulungi, nga wetwogerera akaumibwa ku nkambi yamagye e Makindye, ngagaliddwa wamu neyali omuyima wa Boda Boda 2010 Abdallah Kitata.

Mu bubaka bwatadde ku mukutu gwe ogwa Tweeter, Opondo akakasizza ngomubaka Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, bweyaleteddwa oluvanyuma lwokuvunanwa mu kooti yamagye e Gulu, emisango gyokusangibwa ne mmundu namasasi mu bukyamu.

Opondo mu kino abadde ayanukula okwemulugunya kwabanatu ababadde babanja okulaba ku bifananyi byomubaka Kyagulanyi, okulaba embeera gyalimu.

Akakwungeezi kayaise banamateeka abetabye mu lutuula lwa kooti olutakiriziddwamu yadde banamwulire, bategezezza nti omubaka ono ali mu mbeera mbi, nga yaleteddwa ngawulubadde, nga tasobola yadde okwogera okwanukula ku misango egyamusomeddwa.

Ate poliisi egamba nti yakusigala ngeyiriddwa e Kamyokya, ku nkingizzi za Kampala oluvanyuma lwakegugungo akabaddeyo akawungeezi akayise.

Abantu beeno, omubaka Kyagulanyi nga gyeyakulira beyiye ku nguudo, nga babanja bbo gwebayita presidenti waabwe ayimbulwe.

Okusinziira ku mudumizi wa poliiis mu Kampala North Micheal Musana, akakasizza nti bakusigala nga bakuuma ekifo kino.

Ono ategezezza nti abantu 15 bebakwatiddwa, ngokunonyererza kukyagenda mu maaso.