Amawulire

Bobi Wine akayukidde abazungu

Bobi Wine akayukidde abazungu

Ivan Ssenabulya

April 7th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Akulembera ekibiina kya National Unity Platform, era eyavuganya kubwa pulezidenti mu kalulu akawedde Robert Kyagulanyi asabye amawanga gabazungu okukola nga bwebogera, okulwanyisa enfuga embi mu mawanga amalala.

Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, abadde ayogerera mu lukungaana lwa Geneva Summit for Human Rights and Democracy, olubadde lukwata ku ddembe lyobuntu nenfuga eyamateeka.

Agambye nti basaanye okukaliga gavumenti ya Uganda olwebikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu byebazze betabamu, okusukka ku kwogera.

Agambye nti bangi alipoota zaabwe zalaga nti okulonda kwa bonna okwomwaka oguwedde 2021, tekwali kwamazima na bwenkanya, mwetobekamu okutuluunya, obubbi, ettemu nebirala naye tewali kyebakola.

Gavumenti ezze eyanukula nga begaana byonna byebabalumiriza.

Olukungaana luno lwetabiddwamu abantu abenjawulo, okwabadde bannabyabufuzi nabalwanirizi beddembe lyobuntu okuva mu mawanga agenjawulo.