Amawulire

Bannayuganda boogedde ku byebasuubira mu kwogera kwa pulezidenti

Ali Mivule

June 6th, 2017

No comments

Bya basasi baffe

Nga bannayuganda betegeka okuwulira omukulembeze w’eggwanga by’agenda okwogera ku mbeera eggwanga lyelirimu , abamu ku babaka ba palamenti bakugaganye empawa ku kyebasuubira.

Ababaka okuli  Mike Ssebalu nga ono yali mu palamenti ya East Africa,n’owa  Bunya East James Majegere batutegeezezza nti kale singa pulzidenti ayogera ku mbeera y’ebyenfuna ebiri obubi n’addala ebbeeyi y’emmere ne sukaali ebipaluuse aleme kudda mu by’azenga ayogera.

Ye Omubaka  Medard Lubega Sseggona agamba okwogera kwonna tekujja kukola makulu nga pulezidenti tayogedde ku nteekateeka z’okuva mu buyinza.

Nga Omukulembeze w’eggwanga ateekateeka okwogerako eri eggwanga olunaku olwaleero, bbo  banna Masaka boogedde ku nsonga ez’enjawulo zebamusuubira okwogerako.

Okusinziira ku bakulembeze ab’enjawulo mu kibuga Masaka okuli ab’ebibiina eby’enjawulo, bagamba nti President Yoweri Kaguta Museveni yandibadde ayogera ku bintu ebyekanamye, ebisale by’amasomero okubeera waggulu ddala, ekitta bantu ekiri mu ggwanga  n’ensimbi z’abakyala ezaabasuubizibwa.

 

Mungeri yeemu bbo ab’ekibiina kya FDC baagala omukulembeze w’eggwanga ayogere ku butebenkevu bw’eggwanga obutandise okuyuuga.

Amyuka omwogezi w’ekibiina kya FDC Paul Mwiru agamba bannayuganda bangi bali mu kutya kale obutayogera ku butebenkevu kijja kuba kibi nyo.

Aba FDC era basuubira nti pulezidenti yandiyogedde ku by’okuddamu okulondebwa kwe ku bwapulezidenti okwaliyo mu mwezi gwokubiri omwaka oguwedde, ebyenjigiriza, wamu n’ebyobulimi.

Bbo abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nabo tebasigalidde mabega ku pulezidenti by’agenda okwogerako eri eggwanga olwaleero.

Nabo okufaananako n’aba FDC baagala pulezidenti museveni ayogere ku ttemu erisusse n’obutali butebenkevu obusaasanidde mu ggwanga.

Akulira ekibiina kya Human Rights Network Uganda Mohammad Ndifuna agamba awatali butebenkevu bannayuganda tebasobola kwekulakulanya ekibaviirako  obwavu.

 

Ndifuna on Museveni Eng.