Amawulire
Bishop Kazimba asomozza abayivu
Bya Ivan Ssenabulya
Obuyigirize butekeddwa okutekatyeeka abantu kulwe nkyukakyuka empya mu bulamu ate nokukyusa abalala.
Buno bwebubadde obubaka bwomulabirizi we Mityana Bishop Kazimba Mugalu, bwabadde akulembeddemu amattikira agomulundi ogwe 18th aga Uganda Christian University e Mukono.
Avumiridde obwonenofe mu nsi nemizze nga enguzi, nagamba nti buvunanzibwa bwabatikiddwa okukusa ebitundu byabwe.
Mu bubaka obulalal, ssabalabirizi we kanisa ya Uganda nga ye ssenkulu wa UCU The Most Rev. Stanley Ntagali asabye abayivu bano okufaayo ku balalala.
Agambye nti teri kyofuna mu kwefaako wekka, nomulanga bawerezenga abalala kuba mwemuli emikisa mu maaso ga katonda.