Amawulire

Bikumi na bikumi okuva mu DR-Congo baddukidde mu Uganda

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Okulwanagana kwamawanga mu Buvanjuba bwe gwanga lya Democratic Republic ya Congo kuwalirizza abanu abali mu bikumi nebikumi, okudduka egwanga nebesogga mu Uganda.

Bano okusinga bayita ku nyanja Lake Albert ku nsalao mu bininja abeingi okuyngira muno.

Okulwanagana kuno okusinga kuli ku kyalo Ituri, nga kwogeddwako ngokwamanyi okwefanayiziza ebyaliwo emyaka 20 emabega.

Waliwo taata atagezezea nti abaana be 4 bonna battiddwa namayumba nebagatekera omuliro.

Okulwanagana kuli wakati wamawanga, aba Hema ne Lendu nga bano bali ku mbiranye era tebalima kambugu okumala ebbanga.

Kinajjukirwa nti abantu emitwalo 40 bebasigala nga babundabunda, mu kulwanagana kwefanayirizaako wakati wa 1999 ne 2003.