Amawulire
Betty Nambooze alumbye essundiro lya mafuta e Seeta
Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze Bakireke ngali wamu nabamu ku bakulembeze e Mukono balumbye essundiro ly’amafuta erizimbibwa mu kibuga kye Seeta okulinaana amasomero agawerera ddala asatu nebayimiriza omulimu guno.
Omubaka agamba bano bayingira nemu kubo ate mu koona ekyandivirako obubenje. Bbo aba China ababadde bazimba olulabye nga byononese nebetegula ekibabu.
Kati Nambooze ayise olukiiko olwamangu leero aba UNRA, NEMAnabakulembeze ba munisipaali mwebagenda okunyonolera abatuuze embeera egenda mu maaso.