Amawulire

Betty Kamya ayise olukiiko kubye ttaka lye Kyambogo

Betty Kamya ayise olukiiko kubye ttaka lye Kyambogo

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita webye ttaka Betty Kamya, amakya gano agenda kusisinkana ebitongole 3 ebikayanira ettaka lye Kyambogo.

Kyambogo University, obwakabaka bwa Buganda nakakiiko akebye ttaka aka Kampala District Land Board, bonna bakayanira ettaka eriri mu yiika 400, nga bagamba nti balirinako obwannanyini.

Daily Monitor wiiki ewedde, yawandiika nti waliwo ebyappa bya Kyambogo University ebyali bibuwlidde mu kitongole kyebye ttaka mu KCCA.

Kati wano minisita Betty Kamya wansinzidde okuyita olukiiko olwamangu, okugonjoola ensonga.

Abagenda okwetaba mu lukiiko lu no kuliko, omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero lye Kyambogo Prof Eli Katunguka, ssentebbe wa Kampala District Board David Balondemu, ssentebbe owa Uganda Land Commission Beatrice Byenkya ne ssabawolereza wobwakabaka bwa Buganda.