Amawulire

Besigye yekokodde embeera embi eri mu makomera ga Uganda

Besigye yekokodde embeera embi eri mu makomera ga Uganda

Ivan Ssenabulya

June 10th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Besigye asabye palamenti okuteekawo akakiiko akenjawulo kanonyereze ku mbeera eri mu makomera ge Uganda.

Besigye, nga yakayimbulwa okuva ku alimanda e Luzira ku misango egyókukuuma omuliro mu bantu bweyagombwamu obwala poliisi mu kampala ku Arua Park bweyali atambuza ebigere nga awakanya ebeeyi yébintu eyekannamye mu ggwanga.

Dr Kiiza agambye nti kyeyalaba Luzira kikanga.

Agambye nti ekkomera lino lijjudde nyo nga abasibe buli omu asula ku munne, obujama bungi mu bifo ebisuurwamu ekiviriddeko enkukunyi olubaluma awatali ku zifuyira.

Besigye era anyonyodde nti abasibe abali ku alimanda bakakibwa okufulumizibwa ebweru ne bakolera abaggaga abalina zi-faamu emirimu ne babawa obusente bwa muswaba oba obutabaweera ddaala.

Kati ayagala palamenti aveeyo na kakiiko akenjawulo kanonyereza ku mbeera abasibe mu makomera gonna wano mu ggwanga gye bawangaliramu zitunulwemu