Amawulire

Besigye yegasse ku bakungu abalala okuwagira Tabamiruka wa Biriggwa

Besigye yegasse ku bakungu abalala okuwagira Tabamiruka wa Biriggwa

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Omutandisi w’ekibiina kya Forum for Democratic change party, Dr Kizza Besigye wamu nábakungu abalala ab’ekibiina ekirala abókuntikko bakyagenda mu maaso n’okukunga Ababaka okwetaba mu lukungaana olw’enjawulo olwayitiddwa Ssentebe w’ekibiina, Wasswa Biriggwa.

Ttiimu eno yasisinkanye dda Abakiise ba FDC bitundu ebyóbuvanjuba, obugwanjuba námambuka nga kati eri mu kitundu kyamasekati.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, loodi meeya  wa Kampala eranga yámyuka senkagale wékibiina mu bitundu bya Buganda, Erias Lukwago agamba nti bali mu Disitulikiti y’e Masaka akawungeezi ka leero oluvanyuma lw’okusisinkana ababaka e Mityana olunaku lweggulo.

Basuubirwa okubeera mu bitundu by’e Kampala n’emiriraano (Kampala, Wakiso ne Mukono) olunaku lw’enkya.

Agamba nti mu kino bagala kukunga bakiise bonna okwetaba mu ttabamiruka agenda eyayitibwa Wasswa Biriggwa, ng’agamba nti guno gwe mukisa gwokka gwe balina okugonjoola obuzibu obuli mu kibiina.

Obuzibu mu FDC bweyongedde oluvannyuma lw’abakulembeze okulangira tabamiruka wa mirundi ebiri ate nga ekiwayi ekikulemberwa senkagale Patrick Amuriat kyasemba tabamiruka eyayitibwa sentebe wa kakiiko ke byokulonda mu FDC Toterebuka Bamwenda.

Olukungaana lwa Biriggwa lugenda kubeerawo nga 19th September ate oluyitiddwa akakiiko k’ebyokulonda lutegekeddwa nga October 6.

Mungeri yemu basentebe ba zi-distulikiti mu FDC basabye mukma wabwe Wasswa Biriggwa okusazaamu tabamiruka wékibiina gweyayise.

Bano nga bava mu disitulikiti 113 nga bakulembedwamu sentebe wékibuga kye Masaka Joseph Ssenzoga era bagala ekibiina okutwala Birigwa mu kakiiko akakwasisa empisa olwokumenya amateeka ge kibiina.

Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe e Najjanankumbi, Ssenzoga, agambye nti Birigwa aweereddwa essaawa 48 zokka okusazaamu tabamiruka we oba si ekyo senkagale wekibiina akozese obuyinzabwe agobebwe mu kibiina.