Amawulire

Besigye olutalo alututte mu palamenti

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Moses Kyeyune

Eyali presidenti wekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye olutalo lwe ne Presidenti Museveni alututte mu palamenti.

Besigye ategezeza banamwulire oluvanyuma lwakafubo, kabaddemu naboludda oluvuganya gavumenti, gyeyayitiddwa  agambye nti ababdde batema empenda kungeri yokulwanyisaamu gavumenti ya NRM.

Ategezeza nti enkyukakyuka ekubye koodi, nokuzaamu bann-uagnda essuubi.

Wabula NRM ezze enfuya entekateeka zaboludda oluvugany gavumenti nga bazogerako nga katemba.

Mungeri yeemu Besigye yegaanye eebimwogerwako nti takiririza mu bukulembeze bwoludda oluvuganya gavumenti mu palamenti.

Ategezeza nti abali emabega wokubungeesa bino, tebamanyi era bandiba nga balina ebigendererwa byabwe ebikusike.

Agambye nti olwokuba yeyawangula akakulu ka 2016 tewali kyebayita ludda luvuganya mu palamenti wabula, bebatono oba minority.

Wabula yye ssemateeka we gwanga alaga nti mu palamenti mulimu enjuuyi, abaali mu buyinza nabavuganya.