Amawulire

Besigye ne Mukaku Kkooti ebakkiriza okweyimirirwa

Besigye ne Mukaku Kkooti ebakkiriza okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

July 1st, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyaliko pulezidenti wa FDC Rt. Col. Dr Kiiza Besigye nó mulwanirizi w’eddembe Samuel Mukaku, kkooti eya Buganda road ebayimbudde ku kakalu ka kkooti ka bukadde butaano ezóbuliiwo

Eyali omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Dr. Douglas Singiza, alagidde buli omu ku bano okusasula obukadde bwa sillingi bubiri n’ekitundu nga tebannayimbulwa mu kkomera e Luzira.

Dr. Singiza yannyonnyodde nti wadde Besigye ne Mukaku baagala okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti munsimbi ezitali zabuliwo, tayinza kukontana n’ebiragiro ebyassibwawo kkooti enkulu.

Ababeyimiridde okuli amyuka Loodi Meeya Doreen Nyanjura, omubaka wa munisipaali y’e Kitigum Dennis Onekalit balagiddwa buli omu okussa omukono ku kakalu ka siringi 500,000 ezitali za ssente enkalu, era basabiddwa okulaba abantu babwe bakomawo okuwulira omusango gwabwe.

Besigye ne Mukaku wiiki 2 eziyise baagaaniddwa omulamuzi Asuman Muhumuza owa kkooti eyókuluguudo Buganda okuweebwa okweyimirirwa bweyategeeza nti talina bukakafu nti bano bayinza okwekuuma obutadamu kuzza musango gwegumu.