Amawulire

Besigye aweereddwa ekibbaluwa ekimuyita mu Kkooti

Besigye aweereddwa ekibbaluwa ekimuyita mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya Buganda Road efulumizza ekibaluwa ki bakuntumye eri eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FDC Rt Col Dr.Kiiza Besigye olw’okulemererwa okweyanjula mu Kkooti olwaleero.

Okusinziira ku mulamuzi Asuman Muhumuza, Dr Besigye ne munne Samuel Lubega Mukaku balina okweyanjula mu Kkooti nga July 27th 2023 awatali kwekwasa nsonga yonna okuwulira omusango gwabweo gw’okubakuma omuliro mu bantu n’okukola effujjo.

Kino kiddiridde okulemererwa okulabikako mu Kkooti enkya ya leero nga bwe kyali kitegekeddwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Allan Mucunguzi lugamba nti Dr. Besigye ne Mukaku baakuma omuliro mu bantu nga June 14th 2022 nga basinzira mu Kikuubo ku Shawuriyako mu Kampala wakati nga baali bakunga abantu babeegatteko mu kuwakanya emiwendo egyebintu egyali gyekannamye.

Emisango egibavunanibwa Besigye ne Mukaku bazze bagyegaana era bawozesebwa wabweru wa kkooti ku kakalu.