Amawulire

Besigye amezze gavumenti

Besigye amezze gavumenti

Ali Mivule

July 25th, 2016

No comments

besigye and LukwagoOmulamuzi wa kkooti ye Makindye agobye omusango ogubadde guvunanibwa munna FDC Dr. Kiiza Besigye gwokujeemera ebiragiro bya poliisi.

Besigye abadde avunanaibwa ne loodi meeya wa Kampala Mayor Elias Lukwago n’abalala nga babalanga kujeemera biragiro bya muduumizi wa poliisi mu Kampala South Siraje Bakaleke.

Omulamuzi Fortunate Nyapiri  omusango guno agugobye oluvanyuma lw’oludda oluwaabi okuleetayo yadde omujulizi okulumiriza Besigye nebanne.

 

Kigambibwa okuba nti afande Bakaleke bannabyabufuzi bano yabagaana okukuba olukungaana wali ku Nsambya sharing hall okuteesa ku nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda nebajemera ebiragiro bye.

Kati Besigye ne banne bategezezza nga bwebagenda okwebuuza ku bannamateeka baabwe balabe oba gavumenti bagikuba mu mbuga z’amateeka okubamalira obudde.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *