Amawulire

Besigye alabudde bannakibiina kya FDC ekiwayi kyé Katonga

Besigye alabudde bannakibiina kya FDC ekiwayi kyé Katonga

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, 

Eyaliko senkagale wekibiina kya FDC era omutandisi wakyo, Dr Kiiza Besigye asomoozeza ekiwayi kya bakulembeze bekibiina abe Katonga okukwata ebibasomooza nobwegendereza bireme kubamalamu maanyi mu lutalo lwe balimu.

Bino abyogeredde munsisinkano yabatandisi be kibiina kya FDC ebadde Namugongo, Besigye agambye nti singa ekiwayi kye katonga kiremererwa okugonjoola obutakanya mungeri ya kisajja kikulu kyakwongera okuvaako emirerembe emirara.

Ayongeddeko nti mu buli lutalo lwenkyukakyuka waba wetaagisawo obukugu kungeri ensonga ze kibiina gye zikwatibwamu.