Amawulire

Besigye alabiseeko eri Kkooti yákakiiko kéddembe lyóbuntu

Besigye alabiseeko eri Kkooti yákakiiko kéddembe lyóbuntu

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali yeesimbyewo ku bwa Pulezidenti Dr Kiiza Besigye alabiseeko mu kkooti yákakiiko akalwanirira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission ku bigambibwa nti yatyoboolebwako eddembe lye mu kulonda kwa 2016.

kkooti yákakiiko kano erimu bakamisona basatu ngékulirwa ssentebe w’akakiiko kano Mariam Wangadya.

Okwemulugunya kwa Besigye kukwataganamu nókwékibiina kye nsi yonna ekigaba ekisonyiwo ekya Amnesty international, bwekyategeeza nti waliwo okutyoboola eddembe lyabo abali ku ludda oluvuganya mu kibiina Forum for Democratic Change (FDC) nókukwata mu kalulu ka 2016.

Dr Besigye era awakanya okukwatibwa kwe abébyókwerinda enfunda eziwera n’okwa banne mu bukulembeze bw’ekibiina kya FDC n’abawagizi.

Ensonga endala gy’ayogera mu mpaaba ye, ab’ebyokwerinda baazingizza amaka ge, ne bazinda ofiisi y’ekibiina kya FDC enkulu mu Kampala, yadde nga bino byonna gavt eri mu buyinza ebyegaana.