Amawulire

Besigye aboggodde ku muyambi we

Ali Mivule

March 9th, 2015

No comments

Mugumya bare

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye atabukidde gavumenti olw’okulemererwa okuyamba omuyambi we Sam Mugumya okufuna obwenkanya oluvanyuma lw’okukwatibwa.

Mugumya yakwatibwa omwaka oguwedde mu ggwanga lya Congo nga era akyaali mu mikono gy’ab’obuyinza mu ggwanga lino.

Besigye agamba bukyanga Mugumya akwatibwa mu November w’omwaka oguwedde, taleetebwanga mu kkooti nga ate buvunanyizibwa bwa gavumenti okulaba nga abantu baayo bafna obwenkanya mu maaso g’amateeka.

Besigye ategezezza nga bwebateekateeka bannamateeka baabwe boolekera Kinshasha okulaba nga bawolereza Mugumya.