Amawulire

Bekebejja motoka za mpaka

Bekebejja motoka za mpaka

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Abavuzi ba Mmotoka z’empaka 34 abewandiisa okwetaba mu za Shell V Power Paearl of Africa Rally leero lwebamanya oba mootka zaabwe zituukiridde okuvuganya mu mpaka zino.

Empaka zino zitandika lunaku lwa nkya nga zigenda kutolontokera mu bitundu by’e Jinja ne Buikwe.

Wabula munnansi w’eggwanga lya Kenya avuganya ku ngule ya mmotoka z’empaka ku lukalu lwa Africa Karan Partel eby’okwetaba mu mpaka zino abijjeemu enta.

Partel abadde yatuuse edda mu Uganda agamba nti ssinga anetaba mu mpaka zino motoka ye yandiyonooneka ekiyinza okukosa entekateka ze ezo mu maaso.