Amawulire

Bebatulugunya Bawawabidde Gavumenti-Babalagira Balumirize Minista Henry Tumukunde

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Abantu 5 kwabo abangi abakwatibwa  ku byekuusa ku kutemula eyali omwogezi wa poliisi mu gwanga, omugenzi Andrew Felix Kaweesi bawawabidde ssabawolererza wa gavumenti mu kooti enkulu olwokubatulugunya nebafeenya bwebakwatibwa nebatwalibw aku poliisi ye Nalufenya mu district ye Jinja.

Abantu bano 5 bakulembeddwamu Godfrey Musisi Galabuzi ngono ategezezza nti ku makya ngennaku zomwezi 23rd March  police erwanyisa obutujju eyali edumirwa Johnson Olal yazingako amaka ge nemukwata ne mukayal we Grace Nankya nabakozi 3 nebabawlawala okubatwala e Nalufenya wabula ebyali mu kaddukulu twebyogerekeka nga babaluimiriza okutta omugenzi Kaweesi.

Wabula bano bakawangamudde nti nga bali eyo munda basubizibwa omudidi gwe nsimbi era nebabalagira bakirize nti ddala bebatta Kaweesi.

Mu byabakolebwako bagamba babafuyir omukka ogwbulabe nebaziyira, ekyakosa namaaso gaabwe nga kati tebakyalaba bulungi.

Galabuzi agamba bamala enzingu 30 gwe mwezi mulamba mu kaddukulu.

Galabuzi agamba oluvanyuma bamutukirira nebamusubiza akawumbi ke nsimbi  kalumba nokumuyimbula ssinga akiriza nti bebatta Omugenzi Kaweesi era alumirize Minister webyokwerinda Brig. Henry Tumukunde nti yeyali emabega wokuluka olukwe lwonna nga yeyabatuma.

Agamba era bamulagira ekirize nti Tumukunde yabagamba ate ne ssabapoliisi we gwanga General Kale Kayihura, wabula byonna byeyagaana nti ntayi tajja kubikola.

Munnamateeka mu nsonga ze ddembe lyobuntu Ladislaus Rwakafuzi gwebayiseemu okuwawabira gavumenti.

Kati kooti enkulu ewadde ssabawolererza wa gavumenti ennaku 15 zokka okutekayo okwewozaako kwe, omusango gulyoke gutandike okuwulirwa.