Amawulire

Bebasengulira e Bulambuli badduseeyo

Bebasengulira e Bulambuli badduseeyo

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2021

No comments

Bya Musasi waffe

Abamu ku bantu abkosebwa, mu kubumbulukuka kwe ttaka e Bududa, nebabsengula okubatwala e Bunambutye mu disitulikiti ye Bulambuli badduse mu myumba gaabwe lwa njala.

Amaka agasoba mu 240 omuli abantu 4,000 okuva e Bududa ne dstulikiti za Bugisu endala, kinajjukirwa nti basengulwa mu 2019 ne 2020.

Omwetoloolo ogusooka gwaliwo mu May wa 2019 ate abalala nebasengulwa mu Feb, omwaka oguwedde 2020.

Stanely Simuya, atubuliidde nti gavumenti yasemba okubawa emmere mu May, omwaka oguwedde nga basubira nti batandika okulima emmere yaabwe, songa ssi bwekiri kubanga emmere ebadd tenakula.

Mu Septmeber, omwaka oguwedde Rose Nakabugo, akolanga kamisona owebibamba nebigwa tebiraze yategeeeza nti baalekerawo okuwa abantu bano emmere.

Bano bagamba nti wadde nga ofiisi ya Ssabaminisista yabawa ettaka okulimirako, ate balitwala okuzimbao eddwaliro lya Bunambyutye health centre III, nebasigala nga tebalina wakulimira.

Bagamba nti tebajja kulinda kufa njala, kabetegule banoonye ekyokulya

Omumyuka wa CAO mu disitulikiti ye Bulambuli, James Ingoi agambye nti wlaiwo ekibinja kyebasubira okuva mu wofiisi ya Ssabaminisita we gwanga okujja mu kitundu okwekennenya embeera.