Amawulire

Bbomu eyakubiddwa ku baasi yabwatuddwa lumiramwoyo

Bbomu eyakubiddwa ku baasi yabwatuddwa lumiramwoyo

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Poliiisi ekakasizza nti obulumbaganyi bwa bbomu obwakoleddwa ku bus, bwakoleddwa lumira mwoyo ku bus e Mpigi.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe e Naguru, omwogezi w poliisi Fred Enanga agambye nti Isaac Matovu owemyaka 23 yeyabwatudde bbomu nekigendererwa okutta abantu bonna ababadde mu bus.

Wabula ono yafudde nomusirikale wa poliisi omu nalumizbwa.

Isaac Matovu abadde mutuuze we Kamuli A e Kireka mu Wakiso.

Enanga, agambye nti Matovu era abadde lukalala lwabetagibwa abajambula ba ADF.

Ono era agambye nti bategese obulumbaganyi buno 2, wbaulanga omu yatuuse bus eno najivaako bweyakubiddwa essimu.