Amawulire

Bba wa Stecia azzeemu okukwatibwa

Bba wa Stecia azzeemu okukwatibwa

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo : Stacia ne bba Mu kadaali

File Photo : Stacia ne bba Mu kadaali

Ba wa Stecia Mayanja nga ye Abbas Mubiru azzeemu okukwatibwa mu ttuntu lyaleero.

Mubiru akwatiddwa  ku  kkooti  ya  Buganda  Road gyawerenemba  n’emisango  emirala egy’okuwuwuttanya obukadde  bw’ensimbi  obusukka  mu makumi ana

Mubiru  akwatiddwa  ba  wanyondo  ba  kkooti  ababadde bakulembeddwamu  Ismail  Magumba  wamu  ne poliisi.

Mubiru  abanjibwa  obukadde  kumi  na busatu nga bunno  yabujja  ku  George William Afaayo  nga  zaali za kumuguza ttaka.

Kati Mubiru akyali ku kkooti enkulu agezaako okukuba amasimu ku bantu ab’enjawulo bamuyambe.