Amawulire

Bawakanyizza okuwebwayo kw’ekibira okukisimba kalittunsi

Bawakanyizza okuwebwayo kw’ekibira okukisimba kalittunsi

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Antonio Kalyango. Abatuuze mu gombolola y’e Kabira mu district y’e Kyotera basimbidde ekkuuli abakulira ekitongole ky’ebibira ki National Forestry Authority ku nteekateeka gyebabadde nayo esanyawo ekibira kinansangwa ekya Kigona forest reserve basimbemu emiti gya kalittunsi.

National Forestry Authority, ebadde eriko n’enzikanya gyatuseeko edda n’omusuubuzi John Ssenkungu Kaboggozza nga y’abadde agenda okusimba ettundutundu ku kibira kino, ekibira kya kalittunsi.

Ekibira kino kiriko ebyaalo 6 okuli ekye Nakatoogo, Zzirizi, Kyamayembe, Nkwale, Sserinnya wamu ne Lwoga.

Okuzinziira ku bbaluwa eyafuluma nga 31/01/2023 nga etereddwako omukono gw’akulira National Forestry Authority Tom Okello, Kaboggozza abadde yawebwa hectares 50 ku kibira ekyo alimireko emiti gya kalittunsi.

Wabula sentebe w’egombolola Richard Kalanzi agamba nti obugazi buno bubadde nyongereza ku acre endala 12 ezasooka okumuwebwa ku kibira kyekimu.

John Kaboggoza agamba nti okuwebwa ekitundu ku kibira kino, yasooka kuteekayo kusaba kwe oluvanyuma lw’ekilango ekyayisibwa mu mpapula z’amawulire nga kukolebwa aba NFA.

Kati Esther Nekesa akulira ebibira bya gavumenti mu bitundu bya Sango bay omusangibwa n’ekibira ekyogerwako agamba nti John Kaboggoza n’abantu abalala olukusa balufuna mu mateeka wansi w’enkola eyakazibwa elya Collaborative Forest Management eyatondebwawo ekitongole ki NFA.