Amawulire

Basalirwa wakwegatta ku Ssaabawolereza wa Gavt mu kulwanirira Etteeka

Basalirwa wakwegatta ku Ssaabawolereza wa Gavt mu kulwanirira Etteeka

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyaleeta ebbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga erya 2023 eryafuuse etteeka, Asuman Basalirwa agamba nti wakuteekayo okusabakwe mu kkooti ya ssemateeka emukkirize okwegatta ku ssaabawolereza wa gavumenti balwanirire e tteeka erirwanyisa ebisiyaga.

Kino kiddiridde abalwanirizi b’eddembe okuddukira mu kkooti eno nga bawakanya etteeka erirwanyisa ebisiyaga nga bategeeza nti okussaawo etteeka erirwanyisa ebisiyaga nga tewaaliwo kwebuuza ku bannauganda bonna kimenya ssemateeka era kikontana n’Ebigendererwa by’eggwanga n’emisingi gy’Enkola y’Eggwanga egyateekebwa mu Ssemateeka.

Wabula omubaka wa Munisipaali y’e Bugiri, Basalirwa abuusabuusa nti ssaabawolereza wa gavumenti eyawakanya okukola ebbago lino okutuuka ku ssaawa esembayo ajja kuba mu mbeera okuliwolereza mu kkooti ya ssemateeka okusobola okukuuma obuwangwa bwa Africa n’amaka kwekwagala amwegatteko baliwolereze babiri.

Mungeri yeemu Basalirwa asekeredde bannakyewa abaawaaba mu kkooti ya ssemateeka nga bawakanya etteeka lino ng’agamba nti omusango gwabwe gwaggulwawo nga tegunnatuuka okuva etteeka lino bwe likyalina okuteekebwa mu gazeeti.