Amawulire
Barya asabye Besigye bateese
Eyesimbyewo nga talina kibiina Prof.Venansious Baryamureeba asabye munne munna FDC Dr. Kiiza Besigye aleme kuva mu byakuva mu kwetaba mu lukungaana lw’okukubaganya ebirowoozo kubanga bw’akikola ajja kuba ayiyeyo abawagizi b’oludda oluvuganya gavumenti.
Prof. Baryamureeba agamba oba nga pulezidenti Museveni y’atidde okwetaba mu debate eno, ab’oludda oluvuganya gavumenti basanye okukozesa akakisa kano okutegeeza eggwanga zi manifesito zaabwe.
Bino Baryamureeba y’abyogeredde mu lukungaana lweyakubye mu disitulikiti ye Bukwe.
Ab’ekibiina kya FDC bakalambidde nga webasibiddee webasibidde Dr Kiiza Besigye tagenda kwetaba mu kukubaganya ebirowoozo kw’olunaku olwenkya.
Olunaku olw’eggulo ssentebe w’abateekateeka debate eno James Ogoola y’ategezezza nga mpaawo yesimbyewo ku bwa pulezidenti y’abategezezza mu butongole nti tagenda kwetaba mu lukungaana lw’okukubaganya ebirowoozo.
Wabula omwogezi w’ekibiina kya FDC spokesperson Ibrahim Semujju I agamba tebabayita bu butongole era tebasuubira Besigye okujja.