Amawulire

Bannyini Baasi bawandikidde minisitule kunsonga ezibaruma

Bannyini Baasi bawandikidde minisitule kunsonga ezibaruma

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Bannannyini bbaasi wansi w’ekibiina ekigatta ekya Uganda Bus Owners Association (UBOA) bawandiikidde minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu ku bisale by’abakozesa ppaaka nga beetegekera okusisinkana abakungu ba Gavumenti ab’enjawulo olunaku olwenkya.

Wiiki ewedde ku Lwokubiri, bannannyini bbaasi bendiima obutadamu kukola nga bawakanya ekya KCCA okubanzingako nga babalanga obutagala kusasula musolo gwa paaka ogw’obukadde obukadde bubiri ne mitwalo 40 buli baasi zerina okusasula buli mwaka.

Kino kyawaliriza gavumenti okuyingira munsonga zino ekyavaamu okuyimiriza akeediimo okumala akaseera nga balindirira okuwaayo okusaba mu butongole, nga kulaga ensonga entongole ze baagala gavumenti ekoleko.

Omuwandiisi w’ekibiina kyabwe, Robert Mutebi, ategeezezza Dembe FM nti okusaba kutuusiddwa leero era nga buli kimu kitegekeddwa mu lukiiko lw’enkya.

Bannannyini bbaasi baagala ssente z’abakozesa ppaaka obukadde 2.4 buli bbaasi bwewa buli mwaka ziyimirizibwe okuva ebizibu by’ebyenfuna ebiriwo kati bwe bitasobola kubakkiriza kusasula.