Amawulire

Bannekolera gyange bagaanye ebye South Sudan

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Refugees

Ekibiina kya banekolera gyange kisimbidde ekkuuli ekiteeso ky’okuteekawo amakubo amalala omunatambuzibwa ebyamaguzi okutuuka munda mu ggwanga lya South Sudan.

Abamu ku bekikwatako babadde bateesa bakole kino olw’olutalo olugenda maaso munda mu ggwanga lwa South Sudan okusobozesa eby’obusubuzi okugenda maaso abasubuzi nga beewala amakubo gali ewali okulwanagana.

Wabula akulira ekibiina kino  Gideon Badagawa agamba kuno kuteeka bulamu bwa basuubuzi n’ebyamaguzi byabwe mu matigga.