Amawulire

Banna’Yuganda tebalina mazzi mayonjo

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Alipoota empya efulumiziddwa aba Twaweza  eraze nti bangi ku abann-Uganda tebalina mazzi mayonjo atenga embeeraeyongera kwononeka.

Bwabadde afulumya enyavaudde mu kunonyereza kwabwe okwakolebwa wakati wa January ne Febraury alipoota gyebatuumye “bann-uagnda kyebayitamu nendowooza zaabwe” Marrie Nanyanzi akulira ekitongole kino agambye nti 40% abantu bomu byalo bebasinga okukosebwa olwe bbulya lyamazzi bwogerageranya ku bomubibuga.

Kino bakitadde ku butabaawo biffo webajja maazi ebimala.

Nanyanzi era agamby enti amaka 74% bebalina amazzi agemidumu  nga 15% bali mu byalo ate 46% mu bibuga.

Kati bagamba nti enegri abantu gyebakozesaamu amazzi amayonjo egenze ekendeera.

Kati alipoota ya Twaweza eno ekontanidde ddala neya Uganda Bureau of statistics eyalaga nti abantu bafuna amazzi amayonjo agamala.