Amawulire

BannaYuganda bawakanyizza ow’eLubowa mu polojekiti endala

BannaYuganda bawakanyizza ow’eLubowa mu polojekiti endala

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

BannYuganda baddukidde ku mitimbagano, okuwakanya ekyakoleddwa gavumenti okutembeeta musiga nsimbi, okukola ekkolero lya kaawa.

Minisita webyensimbi, olunnaku lweggulo yatadde emikono ku ndagaano ne Enrica Pinetti, ssentebbe wa booda Boodi owa Uganda Vinci Coffee Company Limited okuzimba ekkolero erisunsula emwanyi nokukola kaawa mu kibangirizi kyamakolero e Kampala nemu Namamnve Business Park.

Bangi banenyezza gavumenti kubanga omusiga yoomu, eyagenda mu ndagaano ne gavumenti okuzimba eddwaliro eryomulembe erya Lubowa International Specialized Hospital nokutuusa kati lyatazimbanga.

Mu mwaka gwa 2019, palanti yayisa ebbanja lnga bakulembeddwamu munnansi wa Italy ono Enrica Pinetti okuzimba eddwaliro lyabitanda 264.

Oluvanyuma kyazuuka ngomulimu guno ogwalina okukolebwa kampuni 2 okuli Finasi ne Roko, tegwakolebwa ne ssente obuwumbi 240 zaabulankana.

Minisitule yebyobulamu nga 10 June 2019, yawaayo ekifo awalina okuzimbibwa eddwaliro lino, nga baasubiza okuwaayo eddwaliro mu mu June wa 2021, nakyo ekitaberawo.

Gavumenti egemba nti ekkolero lya kaawa ligenda kulongoosa ttani emitwalo 6 buli mwaka.