Amawulire

Bannauganda tebalina kyakujjaguza ku meefuga-DP

Bannauganda tebalina kyakujjaguza ku meefuga-DP

Ivan Ssenabulya

October 9th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kye byóbufuzi ekya Democratic Party kigamba nti bannauganda tebalina nsonga kwebayinza kusinzira kujaguza mefuga.

Olunaku olwaleero Uganda lwewezeza emyaka 59 egyamefuga emikolo gibadde ku kisaawe e Kololo wansi womulamwa ogugamba nti okulwanirira ebiseera ebyomusaaso okuyita mu kyukyusa endowooza.

Wabula mu kiwandiiko ekifulumizidwa omwogezi wa DP, Okoler Opio, agambye nti bannauganda tebalina kyakujaguza olwembeera embi mwebali.

Ono era ategezeza nga bwegubadde emikolo gyamefuga gavt ya NRM yagyediza songa girina kuba gyabannauganda bonna awatali kusosowaza kibiina kya bya bufuzi.