Amawulire
Bannauganda basomesebwe ku ddagala erigema covid
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule eyebyobulamu mu ggwanga esabiddwa okutandika okusomesa bannauganda ku bukulu obuli mu kubagema ekirwadde kya Covid19 wasobole okuvaawo endowooza ezitali ntuufu mu bannauganda ku bikwata ku ddagala erigenda okubagemwa.
Kino kidiridde abamu balwanirizi beddembe okugenda ku mikutu egyomutimbagano ne bavumirira entekateeka eyokugema bannauganda nga bagamba nti bannani tebasomesedwa ku bikwata ku ddagala lino oba teririrna bulabe gye bali
Bano era bagala okumanya singa abagemeddwa bafuna obuzibu ani agenda okubaliyirira
Minisita avunanyizibwa ku bya mawulire Judith Nabookoba,agamba nti bannauganda balina okubangulibwa okubataba nakutya kwonna ku ddagala erigenda okubakubwa okubatangira ekirwadde