Amawulire

Bannauganda basabiddwa okweyigiriza endya ennungi

Bannauganda basabiddwa okweyigiriza endya ennungi

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2023

No comments

Bya Kevin Githuku,

Bannayuganda bakubiriziddwa okweyigiriza endya ennungi bwebaba bakusimatuka endwadde eziva kundya embi.

Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga Uganda ekiyita mu kusomoozebwa kw’ekizibu ky’enjala, ekiviiriddeko abantu abamu obutasobola kulya bulungi ate abalala ne batasobola kugula mmere n’akatono.

Amawulire agakwata kundya ennungi gasanye okusasaanyizibwa okusobozesa abantu okumanya bika bya mmere ki bye balina okulya oba okwewala kuba kikola kinene ku mbeera yóbulamu bwa bantu.

Bino byogeddwa akulira ekibiina kyobwannakyewa ekikwata ku byemmere ki Food Rights Alliance, Agnes Kirabo.

Ono okuvaayo bwati nga Uganda yetegekera okutuuza olukungana olukwata ku byendya olugenda okubeera ku university e Makerere mu ssabiiti ejja.