Amawulire

Bannauganda basabiddwa okwetanira Yinsuwa yókuziika

Bannauganda basabiddwa okwetanira Yinsuwa yókuziika

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abakola mu bya-yinsuwa basabye amawanga agakyakula okwongera ku yinsuwa nga bakubiriza abantu okwettanira yinsuwa y’okuziika.

Maneja wa kampuni ya Liberty Insurance, Joe Almeida agamba nti kino kye kiseera ekituufu abantu okusomesebwa ku ngeri y’okutwala yinsuwa y’okuziika kubanga egenda kukola kinene mu kwongera okuyingira mu yinsuwa.

Agamba nti enkola ya yinsuwa ya mu Uganda ekyali ntono, ebalirirwamu ebitundu nga 0.8% ku nsimbi zéggwanga, bw’ogeraageranya ne Kenya eri ku bitundu 3%, Rwanda 25%, ne Tanzania 1%.29.

Bino abyogedde ku mukolo ogwokutta omukago wakati wa kkampuni ya Liberty Insurance ne UWEZO mwe bagenda okuyita okuwa bakasitoma ba UWEZO, ekitongole ekikola ku by’okuziika, yinsuwa y’okuziika.

Cooperate Agent wa Liberty Insurance, Nalule Sylvia agamba nti, abantu bangi tebamanyi bikwata ku yinsuwa kale nga balina okumanyisibwa.