Amawulire

bannauganda basabiddwa okuyambako Gavt mu kawefube wókulwanyisa omuzze ogwókukkomola abakyala

bannauganda basabiddwa okuyambako Gavt mu kawefube wókulwanyisa omuzze ogwókukkomola abakyala

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule eyekikula kyábantu ekubiriza abakwatibwako ensonga okuwagira kaweefube wa gavumenti okumalawo omuzze gwókukekejula abakyala mu mbugo.

Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’okulwanyisa omuzze gwókukomola abakyala mu bifo ebyekyama.

Olunaku lutambula wansi w’omulamwa; ogugamba nti Okukolagana n’abasajja n’abalenzi okukomekereza omuze guno.

Ebikujjuko by’eggwanga lyonna bibadde ku Sheraton hotel mu Kampala.

Bwabadde ayogera ku lw’omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Kaminsona avunaanyizibwa ku nsonga z’ekikula ky’abantu n’abakyala, Angela Nakafeero, agambye nti okumalawo omuzze guno gavumenti yeetaaga obuwagizi okuva eri buli muntu.

Agamba nti okuva etteeka ly’okuwera okukomola abakyala nábaana abóbuwala lyayisibwa mu 2010, wabaddewo okukendeera kwómuzze guno mu ggwanga wabula nga osebwa okulungi mu bitundu bingi byetaaga okukolebwa okugumalirawo ddala.