Amawulire

Bannauganda basabiddwa okulwanyisa ebisomooza ensoma yómwana omuwala

Bannauganda basabiddwa okulwanyisa ebisomooza ensoma yómwana omuwala

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2023

No comments

Bya prossy Kisakye,

Gavumenti esabye bannauganda okumenyawo ebiziyiza byonna ebiremesa omwana omuwala n’abaana abaliko obulemu okugenda ku masomero.

Okusinziira ku minisita ow’ekikula ky’abantu, Sarah Mateke, wadde nga gavumenti evudeyo ne kaweefube ow’enjawulo okutumbula owókusoma okulungi eri omwana omuwala n’abaana abaliko obulemu ebitundu bingi bikyasibidde mu nzikiriza z’ennono ezilemesa okusoma kw’baanabano.

Agamba nti naabo abagezaako okutuuka mu bibiina tebatuuka ku mutendera gwa siniya, kuba bangi bava mu masomero ku myaka emito ekivuddeko obutasoma okweyongera mu baana bano mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Minisita asabye wabeewo okukolagana okuva mu bonna abakwatibwako ensonga okuwagira okusomesa abaana abawala n’abaliko obulemu ng’alaga nti bwe baba baweerebwa amaanyi bayamba mu nkulaakulana y’ebyenfuna n’embeera z’abantu mu bitundu gye babeera.