Amawulire

Bannauganda basabiddwa okukomya ebikolwa byonna ebirumya abakadde

Bannauganda basabiddwa okukomya ebikolwa byonna ebirumya abakadde

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga Uganda etegeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku olw’okumanyisa abantu ku kutulugunyizibwa kw’abakadde olunaku lw’enkya, Bannayuganda basabiddwa okukomya okutulugunya abakadde mu ngeri yonna.

Olunaku luno lukozesebwa okulaga n’okumanyisa abantu ku ddembe ly’abakadde, okujjukira n’okusiima omulimu gwe bakola mu kukulaakulanya eggwanga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala, minisita w’eggwanga avunaanyizibwa ku bakadde, Dominic Mafwabi Gidudu agambye nti okusosolwa olw’emyaka kye kimu ku bisinga okusoomooza abakadde mu ggwanga.

Ategeezezza nti abasinga okutulugunya abakadde be baaluganda n’abavubuka abaagala okuwamba ettaka lyabwe, abalala batusibwako obutabanguko nókukabasanyizibwa nóbutafiibwako.

Okusinziira ku bibalo okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku kubalala mu ggwanga ekya UBOS, Uganda erimu abantu obukadde buna era nga 2 ku 3% boolekedde okutulugunyizibwa mu ngeri emu oba endala.

Ebikujjuko by’eggwanga byakubeera ku Imperial Royale Hotel mu Kampala nga 16th June wansi w’omulamwa; “abakulu basaana Okuweebwa Ekitiibwa n’Okufaayo kwaffe”.