Amawulire

Bannauganda bangi tebamanyi nti waliwo Ambyulensi za Gavt mu bitundu byabwe

Bannauganda bangi tebamanyi nti waliwo Ambyulensi za Gavt mu bitundu byabwe

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses.

Okunonyereza okukolebwa kulaga nti bannauganda 2 ku 10 beebokka bebamanyi nti waliwo ambulance mu bitundu byabwe zebasobola okukubira nga batuuse mu bwetaavu.

Alipoota empya etuumiddwa ‘’Bannauganda byebayiseemu ne byebalowooza ku mbeera ezóbutyabaga némpereeza’’ eyafulumiziddwa Twawenza egamba nti abasinga ku bannauganda bamanyi nti ambyulensi zigabibwa babaka ba palamenti mu bitundu byabwe.

Akulira ebyémirimu mu kibiina kino Marie Nanyanzi agamba nti wadde nga gavumenti etaddewo ambyulensi ez’amangu okuweereza, abantu 8% bokka bebamanyi nti waliwo ambyulensi eziweebwa minisitule y’ebyobulamu okukola ku mbeera ez’amangu ez’obujjanjabi.

Agamba nti abantu 3% bamanyi layini y’obujjanjabi ey’amangu ey’obwereere ey’okukuba singa baba n’embeera ey’amangu ey’obujjanjabi.