Amawulire

bannauganda balabudwa ku nyama y’ebisolo by’omunsiko

bannauganda balabudwa ku nyama y’ebisolo by’omunsiko

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Bannauganda balabudwa okwewala okulya enyama yebisolo byomunsiko okwewala okukwatibwa endwadde ezimu.

Okulabula kuno kukolebwa akulira ekibiina ki The Conservation through Public Health Gladys Kalema.

Kalema anyonyodde nti ebisolo bino naddala baboon birwala nyo ekirwadde kye Ebola n’olukusense kyokka nga ate abantu bagala nyo okulya enyama y’abyo.

Ono agamba nti ebisolo by’omunsiko ebisinga bitera nokulwala endwadde y’oluwere ate nga luzibu lwa kujanjaba.