Amawulire

Bannauganda balabuddwa okuba obulindaala ku bikolwa byábatujju

Bannauganda balabuddwa okuba obulindaala ku bikolwa byábatujju

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2023

No comments

By Kevin Githuku,

Bannayuganda basabibwa okubeera abakkakkamu n’okubeera obulindaala oluvannyuma lw’okulabula lwa Gavumenti ya Bungereza okulabula Uganda ku batujju abasuubirwa okulumba eggwanga lino.

Munnabyabufuzi eyawummula era omukugu mu nkolagana y’ensi yonna; Ambasada Harold Acemah ayogedde ku kulabula kuno nga ‘okulabula okwa bulijjo’ okuva mu mawanga agaakula eri bannansi baabwe basobole okukola okusalawo nga tebanajja mu uganda ate naabo abalimu okwegendereza ebifo ebyobulabe.

Ambasada Acemah agamba nti okulabula kwa bungereza tekulina kuwewulibwa olwókuba wabadewo ebigambibwa nti enkolagana yámawanga gombi yakyankalanamu oluvanyuma lwa Uganda okuyisa etteeka erikangavula abali bebisiyaga.

Wabula agamba nti olutalo lw’okulwanyisa obutujju lwetaaga amaanyi amagatte nga Uganda yokka tesobola kwemalirira.

Eggulo omwogezi w’amagye Brig Felix Kulayigye yategeezezza Daily Monitor nti okulabula kuno tebakutute mu mutima mubi kubanga olutalo lw’ensi yonna olw’okulwanyisa obutujju lukolebwa okuyita mu kukwatagana kw’ebitongole ebikessi, ebyensi yonna omuli ebitongole by’Amerika, Bungereza, Kenya n’amawanga amalala.